Zabbuli 24:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
Zabbuli 59:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Zabbuli 62:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
Zabbuli 89:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
Okubikkulirwa 5:12-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omwana gw’Endiga eyattibwa,
asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi,
n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”
13 (B)Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,
“Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa,
n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga,
Emirembe n’emirembe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.