Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Read full chapter

16 (A)Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
    era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
    emmeeme y’omuntu nze gye nakola.

Read full chapter

(A)onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
    olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
    naye okoze ebibi byonna ebisoboka.

Read full chapter

12 (A)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.

Read full chapter

18 (A)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
    asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
    abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
    naye asanyukira okusaasira.

Read full chapter