Zabbuli 35:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
Zabbuli 109:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
Zabbuli 132:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Yobu 18:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
Yobu 18:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
Yobu 18:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.