Zabbuli 37:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
Engero 13:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,
naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
Engero 13:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
Engero 13:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,
naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
Engero 10:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.