Zabbuli 38:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
Yobu 16:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
Yobu 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
Yobu 21:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
Yobu 30:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”
Zabbuli 88:15-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (B)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
binsaanikiridde ddala.
18 (C)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
nsigazza nzikiza yokka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.