Zabbuli 42:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
Ezeekyeri 7:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Akabi kalyeyongera ku kabi,
ne ŋŋambo ne zeeyongera;
balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,
naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula
n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
Yeremiya 10:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Eweema yange eyonooneddwa,
era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
kuzimba weema yange
wadde okuzimba ekigango kyange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.