Add parallel Print Page Options

(A)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.

Read full chapter

(A)Omuliro gumukulembera
    ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.

Read full chapter

27 (A)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
    n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
    n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.

Read full chapter

(A)Yagamba nti,

Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
    n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
    yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
    okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.

Read full chapter

17 (A)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.

Read full chapter

11 (A)Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali.

Read full chapter

Abafu Balamulwa

11 (A)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 12 (B)Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 13 (C)Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 14 (D)Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 15 (E)Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.

Read full chapter