Zabbuli 51:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
Zabbuli 22:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
Zabbuli 27:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
Lukka 18:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.