Zabbuli 51:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
Zabbuli 63:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
Zabbuli 35:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Zabbuli 96:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
Zabbuli 104:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.