Zabbuli 57:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
Yobu 35:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
atuwa ennyimba ekiro,
Zabbuli 63:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
Zabbuli 149:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.