Zabbuli 65:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
Zabbuli 79:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
Abaruumi 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya.
Read full chapter
Zabbuli 39:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
Danyeri 9:7-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli. 8 Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.