Add parallel Print Page Options

15 (A)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.

Read full chapter

13 (A)n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.

Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.”

Read full chapter

23 (A)Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

Read full chapter

(A)Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”

Read full chapter

(A)bazikirizibwe nga tebategedde,
    n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
    era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.

Read full chapter

10 (A)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Read full chapter

10 (A)Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
    aligwa mu katego ke ye,
    naye abatuukirivu balisikira ebirungi.

Read full chapter

(A)Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
    naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.

Read full chapter

11 (A)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
    ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
    ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
    muligalamira mu nnaku.

Read full chapter