Add parallel Print Page Options

(A)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

Read full chapter

(A)Mukama akebera abatuukirivu
    naye omutima gwe gukyawa ababi,
    n’abakola eby’obukambwe.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.

Read full chapter

20 (A)Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
    alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
    kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.

Read full chapter

18 (A)Abo abanjigganya leka baswale,
    era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
    nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
    bazikiririze ddala.

Read full chapter