Add parallel Print Page Options

(A)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.

Read full chapter

Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu

(A)Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
    olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
    ku lusozi olugimu.
(B)Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
    n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
    N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
    naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.

(C)“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,
    munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
(D)Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,
    kye ssaagikolera?
Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,
    lwaki saalabamu mirungi?
(E)Kaakano muleke mbabuulire
    kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
    Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
(F)Era ndigireka n’ezika,
    sirigirima wadde okugisalira.
    Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
    obutatonnyesaamu nkuba.

(G)Ennyumba ya Isirayiri
    y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
    y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
    Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.

Read full chapter

Olugero lw’Ettalanta

14 (A)“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye.

Read full chapter

15 (A)Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira.

Read full chapter