Zabbuli 92:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
Zabbuli 138:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
Zabbuli 59:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
Okubikkulirwa 15:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.