Add parallel Print Page Options

Oluyimba nga balinnya amadaala.

123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
    Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
(B)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
    n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
    okutuusa lw’alitusaasira.

Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
    kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
    n’okunyoomebwa ab’amalala.

Footnotes

  1. 123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe