Add parallel Print Page Options

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (A)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(B)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(C)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(D)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(E)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(F)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Footnotes

  1. 129:6 Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya