Add parallel Print Page Options

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.