Add parallel Print Page Options

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

(D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
    Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
    era bituufu.
(E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
    mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
    Mukama mutukuvu.

(F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
    ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
    n’abaanukula.
(G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
    baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

(H)Ayi Mukama Katonda waffe,
    wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
    newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
    mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
    kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.