Add parallel Print Page Options

14 (A)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.

Read full chapter

(A)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
    Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
    n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
    n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.

Read full chapter

13 (A)Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula.

Read full chapter

(A)Mukama yamalirira okumenya
    bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
    Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
    byonna ne biggweerera.

Read full chapter