Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Read full chapter

21 (A)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
    bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”

Read full chapter

(A)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.

Read full chapter

Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

Read full chapter

16 (A)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
    ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
    ensi ne byonna ebigirimu,
    ekibuga ne bonna abakibeeramu.

Read full chapter

(A)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

Read full chapter