Add parallel Print Page Options

10 (A)“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye.

Read full chapter

(A)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” (B)Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Read full chapter

12 (A)Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”

Read full chapter

(A)Mukama agamba nti,
“Eky’okubeera omuweereza wange
    n’okuzza amawanga ga Yakobo
    era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo.
Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga,
    olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”

Read full chapter

12 (A)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
    abamu, baliva mu bukiikakkono
    n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”

Read full chapter