Add parallel Print Page Options

13 (A)Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana.

Read full chapter

19 (A)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
    tewali muntu alekawo muganda we.
20 (B)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
    naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
    naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21     (C)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

14 (A)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Read full chapter

(A)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
    abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
    bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
    ne wataba n’omu aziwonya.

Read full chapter

(A)Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
    tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
    buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
(B)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
    omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
    n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
    nga basala enkwe.
(C)Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
    asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
    era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
(D)Tewesiga muntu n’omu,
    wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
    Weegendereze by’oyogera.
(E)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
    n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
    Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.

Read full chapter