Add parallel Print Page Options

19 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”

Read full chapter

25 (A)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. (B)Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. (C)Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. (D)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. (E)Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. (F)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.

Read full chapter

39 (A)Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza.

Read full chapter

Entamu Efumba

24 (A)Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (B)“Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero.

Read full chapter