Add parallel Print Page Options

13 (A)“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

(B)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (C)Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

(D)“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. (E)Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”

Isirayiri Ebonerezebwa

(F)“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,
    olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”
    bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Kuba omusumba
    endiga zisaasaane
    nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
(G)Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,
    “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,
    naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
(H)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
    ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
    mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
    nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”