Ekyamateeka Olwokubiri 10:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali.
Read full chapter
Yeremiya 9:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Read full chapter
Abaruumi 2:28-29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 (B)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.
Read full chapter
Zeffaniya 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
Amosi 5:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Munoonye Mukama munaabanga balamu
aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.