Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Read full chapter

11 (A)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.

Read full chapter

(A)Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.

Read full chapter

44 (A)Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?

Read full chapter

(A)Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.

Read full chapter

18 (A)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

Read full chapter

(A)naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe.

Read full chapter

(A)Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.

Read full chapter