Abaruumi 2:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini.
Read full chapter
Abaruumi 2:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.
Read full chapter
Abaggalatiya 6:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya.
Read full chapter
Abakkolosaayi 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.