Isaaya 19:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[a]
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
Footnotes
- 19:4 Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri
Nakkumu 3:8-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9 (B)Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
Ate nga Abapuuti[a] n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 (C)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
Footnotes
- 3:9 Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.