Okubala 22:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,
“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana.
Read full chapter
Okubala 23:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 Bw’atyo n’alagula nti,
“Golokoka, Balaki, owulirize;
mpulira, mutabani wa Zipoli.
Okubala 24:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 n’alagula nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
Okubala 24:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:
“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
ekisu kyo kiri mu lwazi
Okubala 22:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 23:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.