Add parallel Print Page Options

12 (A)Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

Read full chapter

17 (A)kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

Read full chapter

(A)Balamu n’alagula nti,

“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
    kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
    jjangu oboole Isirayiri.’

Read full chapter

11 (A)Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”

Read full chapter

Okulagula kwa Balamu Okwokubiri

13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”

Read full chapter