Add parallel Print Page Options

Adoniya yeefuula Kabaka

Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma, abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.” (A)Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.

(B)Awo Adoniya[a] mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge. (C)Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.

(D)Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya[b] ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira. (E)Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.

(F)Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda, 10 (G)naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.

11 (H)Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 (I)Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 (J)Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’ 14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”

15 (K)Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza. 16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka.

Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”

17 (L)N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’ 18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi. 19 (M)Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe. 21 (N)Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”

22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira. 23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.

24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo? 25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 (O)Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise. 27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”

28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.

29 (P)Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; 30 (Q)era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”

31 Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!” 32 Kabaka Dawudi n’ayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka, 33 (R)n’abagamba nti, “Mutwale abaweereza[c] ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. 34 (S)Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’ 35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”

36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize. 37 (T)Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”

38 (U)Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi[d] ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni. 39 (V)Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema,[e] n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.” 40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka n’okwatika ne lyatika olw’oluyoogaano olunene.

41 Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?” 42 (W)Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”

43 Yonasaani n’addamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani, 44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka. 45 (X)Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira. 46 Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 47 (Y)N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye, 48 (Z)n’agamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange ey’obwakabaka leero.’ ”

49 Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana. 50 (AA)Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto. 51 Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’ ”

52 (AB)Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.” 53 Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”

Footnotes

  1. 1:5 Adoniya ye yali mutabani wa Dawudi owookuna (2Sa 3:4) ng’aweza emyaka nga asatu mu etaano. Amunoni, ne Abusaalomu, ne Kiriyaabu (eyafa nga muto) bonna baali baafa
  2. 1:7 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi.
  3. 1:33 Abaweereza mu nsonga eno kitegeeza eggye lya kabaka erimukuuma
  4. 1:38 Abakeresi n’Abaperesi baali bakuumi ba Dawudi ab’oku mwanjo. Baava Kuleete ne Bufirisuuti (2Sa 8:18)
  5. 1:39 Eweema eyogerwako wano ye weema Dawudi gye yakolera essanduuko ey’endagaano ya Katonda. Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eyazimbibwa, ng’Abayisirayiri bakyali mu ddungu, yali ekyali e Gibyoni (3:4; 2Sa 6:17)

Adonijah Sets Himself Up as King

When King David was very old, he could not keep warm even when they put covers over him. So his attendants said to him, “Let us look for a young virgin to serve the king and take care of him. She can lie beside him so that our lord the king may keep warm.”

Then they searched throughout Israel for a beautiful young woman and found Abishag,(A) a Shunammite,(B) and brought her to the king. The woman was very beautiful; she took care of the king and waited on him, but the king had no sexual relations with her.

Now Adonijah,(C) whose mother was Haggith, put himself forward and said, “I will be king.” So he got chariots(D) and horses[a] ready, with fifty men to run ahead of him. (His father had never rebuked(E) him by asking, “Why do you behave as you do?” He was also very handsome and was born next after Absalom.)

Adonijah conferred with Joab(F) son of Zeruiah and with Abiathar(G) the priest, and they gave him their support. But Zadok(H) the priest, Benaiah(I) son of Jehoiada, Nathan(J) the prophet, Shimei(K) and Rei and David’s special guard(L) did not join Adonijah.

Adonijah then sacrificed sheep, cattle and fattened calves at the Stone of Zoheleth near En Rogel.(M) He invited all his brothers, the king’s sons,(N) and all the royal officials of Judah, 10 but he did not invite(O) Nathan the prophet or Benaiah or the special guard or his brother Solomon.(P)

11 Then Nathan asked Bathsheba,(Q) Solomon’s mother, “Have you not heard that Adonijah,(R) the son of Haggith, has become king, and our lord David knows nothing about it? 12 Now then, let me advise(S) you how you can save your own life and the life of your son Solomon. 13 Go in to King David and say to him, ‘My lord the king, did you not swear(T) to me your servant: “Surely Solomon your son shall be king after me, and he will sit on my throne”? Why then has Adonijah become king?’ 14 While you are still there talking to the king, I will come in and add my word to what you have said.”

15 So Bathsheba went to see the aged king in his room, where Abishag(U) the Shunammite was attending him. 16 Bathsheba bowed down, prostrating herself before the king.

“What is it you want?” the king asked.

17 She said to him, “My lord, you yourself swore(V) to me your servant by the Lord your God: ‘Solomon your son shall be king after me, and he will sit on my throne.’ 18 But now Adonijah has become king, and you, my lord the king, do not know about it. 19 He has sacrificed(W) great numbers of cattle, fattened calves, and sheep, and has invited all the king’s sons, Abiathar the priest and Joab the commander of the army, but he has not invited Solomon your servant. 20 My lord the king, the eyes of all Israel are on you, to learn from you who will sit on the throne of my lord the king after him. 21 Otherwise, as soon as my lord the king is laid to rest(X) with his ancestors, I and my son Solomon will be treated as criminals.”

22 While she was still speaking with the king, Nathan the prophet arrived. 23 And the king was told, “Nathan the prophet is here.” So he went before the king and bowed with his face to the ground.

24 Nathan said, “Have you, my lord the king, declared that Adonijah shall be king after you, and that he will sit on your throne? 25 Today he has gone down and sacrificed great numbers of cattle, fattened calves, and sheep. He has invited all the king’s sons, the commanders of the army and Abiathar the priest. Right now they are eating and drinking with him and saying, ‘Long live King Adonijah!’ 26 But me your servant, and Zadok the priest, and Benaiah son of Jehoiada, and your servant Solomon he did not invite.(Y) 27 Is this something my lord the king has done without letting his servants know who should sit on the throne of my lord the king after him?”

David Makes Solomon King(Z)

28 Then King David said, “Call in Bathsheba.” So she came into the king’s presence and stood before him.

29 The king then took an oath: “As surely as the Lord lives, who has delivered me out of every trouble,(AA) 30 I will surely carry out this very day what I swore(AB) to you by the Lord, the God of Israel: Solomon your son shall be king after me, and he will sit on my throne in my place.”

31 Then Bathsheba bowed down with her face to the ground, prostrating herself before the king, and said, “May my lord King David live forever!”

32 King David said, “Call in Zadok(AC) the priest, Nathan the prophet and Benaiah son of Jehoiada.” When they came before the king, 33 he said to them: “Take your lord’s servants with you and have Solomon my son mount my own mule(AD) and take him down to Gihon.(AE) 34 There have Zadok the priest and Nathan the prophet anoint(AF) him king over Israel. Blow the trumpet(AG) and shout, ‘Long live King Solomon!’ 35 Then you are to go up with him, and he is to come and sit on my throne and reign in my place. I have appointed him ruler over Israel and Judah.”

36 Benaiah son of Jehoiada answered the king, “Amen! May the Lord, the God of my lord the king, so declare it. 37 As the Lord was with my lord the king, so may he be with(AH) Solomon to make his throne even greater(AI) than the throne of my lord King David!”

38 So Zadok(AJ) the priest, Nathan the prophet, Benaiah son of Jehoiada, the Kerethites(AK) and the Pelethites went down and had Solomon mount King David’s mule, and they escorted him to Gihon.(AL) 39 Zadok the priest took the horn of oil(AM) from the sacred tent(AN) and anointed Solomon. Then they sounded the trumpet(AO) and all the people shouted,(AP) “Long live King Solomon!” 40 And all the people went up after him, playing pipes(AQ) and rejoicing greatly, so that the ground shook with the sound.

41 Adonijah and all the guests who were with him heard it as they were finishing their feast. On hearing the sound of the trumpet, Joab asked, “What’s the meaning of all the noise in the city?”(AR)

42 Even as he was speaking, Jonathan(AS) son of Abiathar the priest arrived. Adonijah said, “Come in. A worthy man like you must be bringing good news.”(AT)

43 “Not at all!” Jonathan answered. “Our lord King David has made Solomon king. 44 The king has sent with him Zadok the priest, Nathan the prophet, Benaiah son of Jehoiada, the Kerethites and the Pelethites, and they have put him on the king’s mule, 45 and Zadok the priest and Nathan the prophet have anointed him king at Gihon. From there they have gone up cheering, and the city resounds(AU) with it. That’s the noise you hear. 46 Moreover, Solomon has taken his seat(AV) on the royal throne. 47 Also, the royal officials have come to congratulate our lord King David, saying, ‘May your God make Solomon’s name more famous than yours and his throne greater(AW) than yours!’ And the king bowed in worship on his bed 48 and said, ‘Praise be to the Lord, the God of Israel, who has allowed my eyes to see a successor(AX) on my throne today.’”

49 At this, all Adonijah’s guests rose in alarm and dispersed. 50 But Adonijah, in fear of Solomon, went and took hold of the horns(AY) of the altar. 51 Then Solomon was told, “Adonijah is afraid of King Solomon and is clinging to the horns of the altar. He says, ‘Let King Solomon swear to me today that he will not put his servant to death with the sword.’”

52 Solomon replied, “If he shows himself to be worthy, not a hair(AZ) of his head will fall to the ground; but if evil is found in him, he will die.” 53 Then King Solomon sent men, and they brought him down from the altar. And Adonijah came and bowed down to King Solomon, and Solomon said, “Go to your home.”

Footnotes

  1. 1 Kings 1:5 Or charioteers