Add parallel Print Page Options

32 (A)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri.

Read full chapter

Yerobowaamu II Kabaka wa Isirayiri

23 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu.

Read full chapter

(A)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”

Read full chapter

Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! (A)Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.

10 Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya Mukama. 11 (B)Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”

Read full chapter