Add parallel Print Page Options

34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

41 (A)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.

Read full chapter

(A)Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Read full chapter

21 (A)Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,

“Mwebaze Mukama
    kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Read full chapter

11 (A)Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,
    n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”

Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.

Read full chapter

(A)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Read full chapter

136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

11 (A)amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti,

“ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye,
    kubanga Mukama mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter