Add parallel Print Page Options

14 Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya Mukama ekitakoma, ennaku zonna ez’obulamu bwange, nneme okuttibwa, 15 (A)tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”

16 (B)Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.” 17 (C)Yonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.

Read full chapter

42 (A)Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.

Read full chapter