Add parallel Print Page Options

Dawudi ng’ali Adulamu n’e Mizupe

22 (A)Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. (B)N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.

Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu[a] nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.

(C)Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.

Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu

(D)Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. (E)Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? (F)Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”

(G)Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 10 (H)Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”

11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”

N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”

13 (I)Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”

14 (J)Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”

16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”

17 (K)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”

Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.

18 (L)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (M)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.

20 (N)Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. 21 Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama. 22 (O)Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. 23 (P)Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”

Footnotes

  1. 22:3 Omu ku bajjajja ba Dawudi yali Mumowaabu (Lus 1:22; 4:17-22).

David at Adullam and Mizpah

22 David left Gath and escaped to the cave(A) of Adullam.(B) When his brothers and his father’s household heard about it, they went down to him there. All those who were in distress or in debt or discontented gathered(C) around him, and he became their commander. About four hundred men were with him.

From there David went to Mizpah in Moab and said to the king of Moab, “Would you let my father and mother come and stay with you until I learn what God will do for me?” So he left them with the king of Moab,(D) and they stayed with him as long as David was in the stronghold.

But the prophet Gad(E) said to David, “Do not stay in the stronghold. Go into the land of Judah.” So David left and went to the forest of Hereth.(F)

Saul Kills the Priests of Nob

Now Saul heard that David and his men had been discovered. And Saul was seated,(G) spear in hand, under the tamarisk(H) tree on the hill at Gibeah, with all his officials standing at his side. He said to them, “Listen, men of Benjamin! Will the son of Jesse give all of you fields and vineyards? Will he make all of you commanders(I) of thousands and commanders of hundreds? Is that why you have all conspired(J) against me? No one tells me when my son makes a covenant(K) with the son of Jesse.(L) None of you is concerned(M) about me or tells me that my son has incited my servant to lie in wait for me, as he does today.”

But Doeg(N) the Edomite, who was standing with Saul’s officials, said, “I saw the son of Jesse come to Ahimelek son of Ahitub(O) at Nob.(P) 10 Ahimelek inquired(Q) of the Lord for him; he also gave him provisions(R) and the sword(S) of Goliath the Philistine.”

11 Then the king sent for the priest Ahimelek son of Ahitub and all the men of his family, who were the priests at Nob, and they all came to the king. 12 Saul said, “Listen now, son of Ahitub.”

“Yes, my lord,” he answered.

13 Saul said to him, “Why have you conspired(T) against me, you and the son of Jesse, giving him bread and a sword and inquiring of God for him, so that he has rebelled against me and lies in wait for me, as he does today?”

14 Ahimelek answered the king, “Who(U) of all your servants is as loyal as David, the king’s son-in-law, captain of your bodyguard and highly respected in your household? 15 Was that day the first time I inquired of God for him? Of course not! Let not the king accuse your servant or any of his father’s family, for your servant knows nothing at all about this whole affair.”

16 But the king said, “You will surely die, Ahimelek, you and your whole family.(V)

17 Then the king ordered the guards at his side: “Turn and kill the priests of the Lord, because they too have sided with David. They knew he was fleeing, yet they did not tell me.”

But the king’s officials were unwilling(W) to raise a hand to strike the priests of the Lord.

18 The king then ordered Doeg, “You turn and strike down the priests.”(X) So Doeg the Edomite turned and struck them down. That day he killed eighty-five men who wore the linen ephod.(Y) 19 He also put to the sword(Z) Nob,(AA) the town of the priests, with its men and women, its children and infants, and its cattle, donkeys and sheep.

20 But one son of Ahimelek son of Ahitub,(AB) named Abiathar,(AC) escaped and fled to join David.(AD) 21 He told David that Saul had killed the priests of the Lord. 22 Then David said to Abiathar, “That day, when Doeg(AE) the Edomite was there, I knew he would be sure to tell Saul. I am responsible for the death of your whole family. 23 Stay with me; don’t be afraid. The man who wants to kill you(AF) is trying to kill me too. You will be safe with me.”