Add parallel Print Page Options

11 (A)Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

Okufa Kwa Eri

12 (B)Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 13 (C)Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.

14 Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”

Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. 15 (D)Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16 Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”

Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” 17 Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

18 (E)Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.

Read full chapter

16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”

17 (A)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”

Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.

18 (B)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (C)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.

20 (D)Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi.

Read full chapter