Add parallel Print Page Options

(A)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”

Read full chapter

23 (A)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.

Read full chapter

(A)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
    Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
    kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.

Read full chapter

23 (A)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Read full chapter

20 (A)Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
    alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
    kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.

Read full chapter

12 (A)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
    alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
    kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.

Read full chapter

27 (A)Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli.

Read full chapter

12     (A)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Read full chapter

19 (A)ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri.

Read full chapter

(A)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye.

Read full chapter