Add parallel Print Page Options

15 (A)Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu[a] ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”

Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:15 Abalekabu bazzukulu ba Lekabu, ate era bazzukulu ba Yesero; baawangaala okutuusa mu biro bya Yeremiya (Yer 35:6, 8). Baanyiikira nnyo okusinza Mukama ate nga balunzi

15 (A)“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri[a]. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu

(A)Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter