Add parallel Print Page Options

(A)Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo.

Read full chapter

14 (A)Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde. 15 (B)Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. 16 (C)Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’

17 (D)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”

18 Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’ 19 (E)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”

Read full chapter

55 (A)n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.

Read full chapter

(A)“Genda eri ekika eky’Abalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya Mukama obawe envinnyo banywe.”

Read full chapter

19 (A)Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume.

Read full chapter

18 (A)Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.

Read full chapter