Add parallel Print Page Options

29 (A)Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.

Read full chapter

(A)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[a] asabuukulula engabo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli

(A)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
    era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
    Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Mukama ayongera n’agamba nti,
    “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
    nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
    n’Abasuuli e Kiri?”

Read full chapter