Add parallel Print Page Options

(A)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.

Read full chapter

(A)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
    era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.

Read full chapter

23 (A)Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.

Read full chapter

(A)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.

Read full chapter

(A)Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.

Read full chapter

(A)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[a] asabuukulula engabo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli

(A)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
    era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
    Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

10 (A)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
    ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
    weetwalire ensi y’Abamoli.

Read full chapter