Add parallel Print Page Options

10 (A)Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?”

Read full chapter

13 (A)Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu[a] ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa,[b] ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:13 Omulyango ogwo gwali ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa bbugwe wa Yerusaalemi.
  2. 2:13 Omulyango ogw’Obusa gw’omulyango Abayudaaya gwe baagoberangamu ensolo ez’ekiweebwayo, nga bazitwala mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu (laba 3:13-14; 2Bk 23:10).

17 (A)Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.”

Read full chapter