Add parallel Print Page Options

(A)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.

Read full chapter

39 (A)Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. (B)Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.

(C)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. (D)Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.

(E)Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. (F)Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10 Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.

Read full chapter

(A)Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.

(B)Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. (C)N’akwatibwa.

Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 (D)Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 (E)N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.

Read full chapter

Okugwa kwa Yerusaalemi Kunnyonnyolwa

21 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.”

Read full chapter

(A)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.

Read full chapter