Add parallel Print Page Options

11 (A)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.

(B)Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti, (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.

Lekobowaamu Anyweza Yuda

Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, 10 ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. 11 N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. 12 N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.

13 Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. 14 (D)Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe, 15 (E)nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye. 16 (F)N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 17 (G)Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.

Ennyumba ya Lekobowaamu

18 Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, 19 Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. 20 (H)Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. 21 (I)Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.

22 (J)Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. 23 N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.

11 When Rehoboam arrived in Jerusalem,(A) he mustered Judah and Benjamin—a hundred and eighty thousand able young men—to go to war against Israel and to regain the kingdom for Rehoboam.

But this word of the Lord came to Shemaiah(B) the man of God: “Say to Rehoboam son of Solomon king of Judah and to all Israel in Judah and Benjamin, ‘This is what the Lord says: Do not go up to fight against your fellow Israelites.(C) Go home, every one of you, for this is my doing.’” So they obeyed the words of the Lord and turned back from marching against Jeroboam.

Rehoboam Fortifies Judah

Rehoboam lived in Jerusalem and built up towns for defense in Judah: Bethlehem, Etam, Tekoa, Beth Zur, Soko, Adullam, Gath, Mareshah, Ziph, Adoraim, Lachish, Azekah, 10 Zorah, Aijalon and Hebron. These were fortified cities(D) in Judah and Benjamin. 11 He strengthened their defenses and put commanders in them, with supplies of food, olive oil and wine. 12 He put shields and spears in all the cities, and made them very strong. So Judah and Benjamin were his.

13 The priests and Levites from all their districts throughout Israel sided with him. 14 The Levites(E) even abandoned their pasturelands and property(F) and came to Judah and Jerusalem, because Jeroboam and his sons had rejected them as priests of the Lord 15 when he appointed(G) his own priests(H) for the high places and for the goat(I) and calf(J) idols he had made. 16 Those from every tribe of Israel(K) who set their hearts on seeking the Lord, the God of Israel, followed the Levites to Jerusalem to offer sacrifices to the Lord, the God of their ancestors. 17 They strengthened(L) the kingdom of Judah and supported Rehoboam son of Solomon three years, following the ways of David and Solomon during this time.

Rehoboam’s Family

18 Rehoboam married Mahalath, who was the daughter of David’s son Jerimoth and of Abihail, the daughter of Jesse’s son Eliab. 19 She bore him sons: Jeush, Shemariah and Zaham. 20 Then he married Maakah(M) daughter of Absalom, who bore him Abijah,(N) Attai, Ziza and Shelomith. 21 Rehoboam loved Maakah daughter of Absalom more than any of his other wives and concubines. In all, he had eighteen wives(O) and sixty concubines, twenty-eight sons and sixty daughters.

22 Rehoboam appointed Abijah(P) son of Maakah as crown prince among his brothers, in order to make him king. 23 He acted wisely, dispersing some of his sons throughout the districts of Judah and Benjamin, and to all the fortified cities. He gave them abundant provisions(Q) and took many wives for them.