Add parallel Print Page Options

Sisaki Alumba Yerusaalemi

12 (A)Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama. (B)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama. (C)N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri. (D)N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi.

(E)Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”

(F)Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.”

(G)Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki. (H)Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.”

(I)Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 10 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka. 11 Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi.

12 (J)Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe.

13 (K)Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. 14 Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.

15 (L)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 16 (M)Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira.

Shishak Attacks Jerusalem(A)

12 After Rehoboam’s position as king was established(B) and he had become strong,(C) he and all Israel[a](D) with him abandoned(E) the law of the Lord. Because they had been unfaithful(F) to the Lord, Shishak(G) king of Egypt attacked Jerusalem in the fifth year of King Rehoboam. With twelve hundred chariots and sixty thousand horsemen and the innumerable troops of Libyans,(H) Sukkites and Cushites[b](I) that came with him from Egypt, he captured the fortified cities(J) of Judah and came as far as Jerusalem.

Then the prophet Shemaiah(K) came to Rehoboam and to the leaders of Judah who had assembled in Jerusalem for fear of Shishak, and he said to them, “This is what the Lord says, ‘You have abandoned me; therefore, I now abandon(L) you to Shishak.’”

The leaders of Israel and the king humbled(M) themselves and said, “The Lord is just.”(N)

When the Lord saw that they humbled themselves, this word of the Lord came to Shemaiah: “Since they have humbled themselves, I will not destroy them but will soon give them deliverance.(O) My wrath(P) will not be poured out on Jerusalem through Shishak. They will, however, become subject(Q) to him, so that they may learn the difference between serving me and serving the kings of other lands.”

When Shishak king of Egypt attacked Jerusalem, he carried off the treasures of the temple of the Lord and the treasures of the royal palace. He took everything, including the gold shields(R) Solomon had made. 10 So King Rehoboam made bronze shields to replace them and assigned these to the commanders of the guard on duty at the entrance to the royal palace. 11 Whenever the king went to the Lord’s temple, the guards went with him, bearing the shields, and afterward they returned them to the guardroom.

12 Because Rehoboam humbled(S) himself, the Lord’s anger turned from him, and he was not totally destroyed. Indeed, there was some good(T) in Judah.

13 King Rehoboam established(U) himself firmly in Jerusalem and continued as king. He was forty-one years old when he became king, and he reigned seventeen years in Jerusalem, the city the Lord had chosen out of all the tribes of Israel in which to put his Name.(V) His mother’s name was Naamah; she was an Ammonite. 14 He did evil because he had not set his heart on seeking the Lord.

15 As for the events of Rehoboam’s reign, from beginning to end, are they not written in the records of Shemaiah(W) the prophet and of Iddo the seer that deal with genealogies? There was continual warfare between Rehoboam and Jeroboam. 16 Rehoboam(X) rested with his ancestors and was buried in the City of David. And Abijah(Y) his son succeeded him as king.

Footnotes

  1. 2 Chronicles 12:1 That is, Judah, as frequently in 2 Chronicles
  2. 2 Chronicles 12:3 That is, people from the upper Nile region