Add parallel Print Page Options

Okufa kwa Yosiya

20 (A)Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale. 21 (B)Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”

22 (C)Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.

23 (D)Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.” 24 Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.

25 (E)Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.

Read full chapter

26 (A)Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.

Read full chapter