Add parallel Print Page Options

24 (A)Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu.

Read full chapter

(A)Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene.

Read full chapter

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

Read full chapter

16 (A)Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 (B)Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba.

Read full chapter