Add parallel Print Page Options

30 (A)Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere[a]. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba.

Read full chapter

Footnotes

  1. 15:30 Okubikka omutwe n’okutambula nga tolina ngatto mu bigere bwali bubonero obulaga ennaku n’okukungubaga

(A)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
    bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
    bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
    n’essuubi nga libaweddemu;
    babikka amaaso gaabwe.

Read full chapter

(A)Ettaka lyatise
    kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
    babikka ku mitwe gyabwe.

Read full chapter

(A)Abalabi baliswazibwa
    n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
    kubanga Katonda tabaanukula.”

Read full chapter