Add parallel Print Page Options

Yekoyakini Ateebwa

27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri.

Read full chapter

24 (A)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (B)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (C)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (D)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (E)Ayi ggwe ensi, ensi,
    wulira ekigambo kya Katonda!
30 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
    kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
    oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Read full chapter

Ebibbo by’Emitiini

24 (A)Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

Emyaka Nsanvu egy’Obusibe

25 (A)Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni.

Read full chapter

(A)Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi.

Read full chapter

28 (A)Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse:

mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:

Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;

Read full chapter